Nyinza Ntya Okuzaala Omwana Obuggya Olubeerera?
Entandikwa y’engeri y’okuzaala omwana obuggya olubeerera
Bwoba oyina obwetaavu mu kuzaala omwana obuggya olubeerera nsaba okwatagane n’akabinja akanonyeza abaana amaka g’okuberamu baggya kuba basanyufu okuteesa naawe n’okukusinkana oba okukudamu ebibuuzo byonaaba nabyo ebisooka.
Ebisingako awo ku byokusasulira mu kuzaala omwana obuggya nsaba nyiga wano.
Nnina obusobozi?
Ani asaanidde okuzaala omwana obuggya?
Abatuuze ba Uganda basaanidde okusaba okuzaala abaana obuggya.
Abasabi kinoomu n’asuka mu omu nga Bannayuganda basaanidde okuzaala abaana obuggya.
Bannamawanga abagwira nga babadde mu Uganda okumala akaseera ka myaka esatu n’omusobyo amateeka gabakiriza era gabatwala Batuuze.
Abagwira nga tebanafuuka batuuze naye nga balubiirira okubeera mu Uganda okumala ebbanga erisukka mu myaka esatu baanirizibwa okutukirira ekitongole kya “Child’s i Foundation” ku songa ezikwata ku kuzaala abaana obuggya. Wabula okuzaala omwana obuggya mu bulamu bwe bwonna ng’oyita mu mateeka kikirizibwa ng’omaze ebbanga lya myaka essatu n’omusobyo ng’omutuuze mu Uganda era ng’omazze akaseera akasaamusaamu ng’omwana omulabirira ng’omwana wo.
Okutukiriza Okusalawookwo
Okuteeka mu nkola okusalawo kw’okuzaala omwana obuggya kintu kizibu nnyo ate kwewaayo kwa lubeerera naye ate ebirungi byakyo tebigwayo olw’ebyokuyiga ebijja eri omuzadde n’omwana.
Bwoba oyagala okuzaala omwana obuggya twandibadde basanyufu okuddamu ebibuuzo byonna byoyina. Nsaba okube ku ssimu y’omuky: +256 (0) 791777319.