Ugandans Adopt

BIKI BYOYINA OKUSASULIRA

Ekitongole kya “Child’s I Foundation” tekikusaba wadde ennusu bwekiba kikuyambako mu ngeri z’okuzaala omwana obuggya. Twagala buli mwana ali mu maka gaffe oba ekibiina kya “Malaika Babies Home” atekebwe mu maka agalimu okwagala n’obukuumi kyekyetaago kyaffe ekikulu. Tetuyina nsasula gyetwagala oluvanyuma wabula kumanya nti omwana akakkanye, ayagalwa ate akuumibwa.

Wadde ffe tetuyina nnusu gyetusaba, wayinza kubawo okusasulira emirimu gy’ebibiina ebya waggulu ebyenyigiramu n’okusasulira emirimu gy’omukugu w’ebyembeera z’abantu n’abakugu bannamateeka abalala abenyigiramu ab’etaaga ssente z’entambula, ssente z’ekiseeera ky’ebibuuzo, ssente z’okuggyuza empapula wamu n’okuzikakasa.

Bino wammanga biyinza okwetaaga okusasulira {ng’oggyeko ebirara}

  • Okuyambibwako ng’omaliriza empapula z’okulabirira oba okuzaala omwana obuggya oluberera ez’omumateeka.
  • Okuggyuza empapula ez’ekooti y’omulamuzi.
  • Okufuna okukirizibwa okuva ew’omulamuzi.
  • Okukukirizibwa n’okuwebwa obukakafu bwekikkugu okuva mu kooti.
  • Bino ne ssente zino wamanga byetagisa mu kufuna okukirizibwa okuzaala omwana obuggya :

  • Ebbaluwa y’obuzaale egula 30.000Ugx {Emitwalo esatu egya Uganda}
  • Poliisi y’ensi yonna okukunonyerezako ebikwatako kya 1500Ugx {Mutwalo gumu Kitundu ogwa Uganda}
  • Okusasula omukugu mu mbeera z’abantu okunonyereza ebifa ku makaago kwa 200000Ugx {Mitwalo egyitassuka mw’ abiri egya Uganda}
  • Abakuggu abaakakasibwa amateeka mu kuzaala abaana obuggya.

    Okufuna obuyambi obusingawo n’okubudabudibwa mungeri y’okuzaala omwana obuggya oyinza okwetaaga okwebuza ku kibiina ekiyitibwa “Nkwanga and partners Associates”, abakugu mubikwata ku by’okulabirira omwana atali wuwo oba okumuzaala obuggya olubeerera {Bayinza okwetaago okusasula oba obutasasulwa}:

    Katamba Victoria
    Essimu: +256 772 212 677
    Omutimbagano: [email protected]

    Kisaka Dorothy
    Essimu: +256 772 417 449
    [email protected]

    Leave a Reply