Ugandans Adopt

EBITUFAAKO

Malaika Babies Home

Malaika Babies Home awaka wano wankyukakyuka mu baana, wasobola okukuza abaana 25 {abiri mu bataano}, abali wakati w’ebbanga lya 0-2 {ebbujje n’emyaka ebiri}. Ekitongole kino kisangibwa Mengo mu Kampala, abaana abali mu kitongole kino bafuna okulabirirwa kw’obujanjabi n’emisomo mu bujjuvu ebiri awo wenyini. Abalabirira bakola ku buli mwana kinoomu okusobola okutangira abaana eri ebiwundu by’omwoyo, omubiri nekubwongo bwabwe ebiretebwa obutafiibwako.

Amaka gano gayitibwa “Nkyukakyuka” kubanga abaana baberawo nga kisoboka okufuna endabirira eya namaddala ekira ku mbeera gyebavaamu okutuusa nga bafuniddwa amaka agabazaala obujja kibasobozesse okweyongerayo mu bulamu obusanidde. Tuyina enzikiriza nti buli mwana ayina eddembe ly’okkulira mu maka agali mu mbeera y’okwagala era webafunira endowooza y’obuwangwa n’ensibuko yabwe ey’enjawulo. Obweyamu bw’akabinja kaffe akanonyeza abaana amaka g’okubatekamu kafaayo nnyo okutandikira kukunonyeza omwana ensibuko yye nga ekisokerwako ssinga aba wakufunirwa amaka, oluvanyuma tutandika okunonya amaka aganazaala omwana obujja mu bitundu eby’okumpi ssinga ensibuka yye eba ebuze naye ng’ekirubirirwa mu byonna ssanyu lya mwana.

Ebisingako awo ku byokufunira abaana amaka nsaba okube ku ssimu y’omuky: Mary +256 (0) 775531177.

Akabinja akanonyeza abaana amaka g’okuberamu
Akabinja kano akali mu kitongole kya Child’s i Foundation ekifaayo nnyo okuba ekiddukiro ky’obuyambi bw’abaana Mu Kampala ne Uganda yonna.

Tuyina okukiriza nti abaana batuuka ku busobozi bwabwe obujjuvu mu ssanyu sssinga baba balagwa okwagala n’okkulira mu maka. Omwana okusobola okuba n’endowooza y’obuwangwa bwe nnakki kyaali tumuteeka Mu kibiina kyaffe ekiyitibwa “Malaika Babies Home” Mu maka ga Uganda gokka.
Emirimu gy’okunonyeza omwana amaka egyikolebwa ekitongole kya “Child’s i” gyiruubirira kusooka kuteeka mwana mu maka g’ensibuko yye. Bwaba ensibuko yye tesobola kufunibwa oba nga teyina bisanizo awo ekibiina kino kimunonyeza amaka agamulabirira okumala akaseera oba agamuzaala obujja olubeerera kisobozese omwana okufuna ebyetaago bye ng’omuntu. Ekibinja kituukiriza enkola ennungi, enziri mu mateeka ga Uganda aga kakaano agakwata ku kuzaala abaana obuggya olubeerera awamu nag’ekitongole ky’ensi yonna ekirwanirira eddembe ly’abaana ekiyitibwa United Nation’s International Convention on the Rights of the Child.

Tukolera wamu n’ebitongole byannakyewa ebiyamba abaana mu bifo ebyenjawulo wano tusobole okuteeka n’okukasa nti buli mwana afunye wasimba amakanda ate nga afunirawo obukuumi bw’oluberera n’embeera ennungi.

Ekitongole kya Child’s i Foundation kirwanirira baana kuzalibwa buggya wadde nga ebyobuwangwa n’endowooza embi abantu ze bayina zikiremesa okutekbwa mu nkola. Tuluubirira okukozesa eby’okumpewo mu bunji okusobola okulwanirira abaana okuzalibwa obugya n’abazadde okukyagala ssinga baba n’obweyamu bwokuwayo okwagala n’embeera ennungi oba okukubiriza abakikola awo amabuggye gasobole okuganyulwa.
Kubisingako awo ebikwata kukunonyeza abato amaka g’okuberamu Kuba ku ssimu + 256 (0) 791777319

Leave a Reply