Obubaka eri abazadde Bannayuganda abazaala abaana obuggya olubeerera
Obubaka buno bugenderera kuwa bazadde abazaala abaana obuggya amagezi g’okukozesa ku mpapula ezetagisa mu mitendera gy’okuzaala amwana obuggya olubeerera.
Ekitongole kya “child’s i” kisobola okukuyamba ku bimu ku bino ate ne ebintu ebiteredwako akabonero oba laama ya BH{ ekitegeeza awaka wa abaana oba “Babies Home” } wammanga nkusaba oleme kwebwalabwala mu kututuukirira okubako byotubuuza.
Empapula ezetaagisa okuggyuza mu kulabirira omwana atali wuwo nga ttonamuzaala buggya olubeerera:
Ebikwata ku mwana agenda okulabirira nga bino bimalirizibwa omukugu mu by’embeera z’abantu, BH n’omuzadde.
Ebikwata ku muntu ayagala okulabirira omwana okumala akaseera { ku lupapula lw’okubiri eteeka ly’omwenda} – olupapula lugyuzibwa muzadde.
Okukirizibwa okuva ew’omukugu mumbeera z’abantu – olupapula luretebwa BH
Ebbaluwa okuva ew’omukulu wa akakiiko k’ekyalo {LC} – Eretebwa muzadde.
Ebbaluwa z’abawagizi babiri – ziretebwa muzadde.
Obukakafu obulaga nti omwana yalangibwa mu mpapula z’amawulire oba ku leediyo/omulereetu mu kugezaako okunonya enganda n’emikwano gy’omwana – Buletebwa BH.
Ebbaluwa oba satifikeeti y’obulamu bw’omwana – Eretebwa muzadde.
Empapula ezetaagisa okufuna obuyinza bw’okuzaala omwana obuggya olubeerera:
Okunnyonnyola k’omukulu w’embeera z’abantu.
Ebiva ku poliisi/ “Babies Home” okukakasa nti omwana taliiko bazadde bamanyiddwa nti era olw’ekyo omwana ayina kuzaalibwa buggya lubeerera.
Ebikwata ku bulamu n’okugemebwa kw’omwana.
Obukakafu obulaga nti omwana alabiridwa okumala akaseera ka myaka 3 {esatu}.
Ebbaluwa okuva ewa mukamaawo ku mulimu eraga enfuna yo eya ssente.
Okufuna okukirizibwa kw’okuzaala omwana obuggya olubeerera:
Kuno okukiribwa kuva mu kooti ento.
Oyinza okwetaaga okufuna obuyambi okuva ew’omuworereza okusobola okufuna okukirizibwa naye ate kiyinza obutaba kya mugaso.
Kooti zawansi mu kampala zisangibwa mu bifo bino wammanga:
e Mengo
e Makindye
e Nakawa
Ku kitebe ekiddukannya ekibuga kampala {“kampala City Council”}. Emigaso gy’okuzaala omwana obuggya olubeerera mu mateeka amaggyuvu:
Omwana wo aba n’eddembe eriggyuvu mu makaago.
Omwana aba n’obukuumi nga ali mu mikono gyo
Obulamu bw’omwana oba okuyimirirawo kw’omwana nga muwala wo oba mutabani wo kubaako obukuumi bw’olubeerera.