Ugandans Adopt

FAQs

OKUZAALA OMWANA OBUGGYA OLUBERERERA KITEGEEZA KI?

Kitegeeza okutwala omwana w’omuntu omulala e wakaawo nalabirirwa ssinga aba tasobola kkuzibwa bazadde be abommusaayi.

Okumalirizibwa kw’engeri y’okuzaala omwana obuggya oluberera kitegeeza omwana aggya kubeera n’eddembe lye mu buggyuvu mu maka gyaba atwaliddwa ng’amateeka bwegakirambika n’ekirala abazadde abazaala omwana obuggya bafuuka bazzadde be ab’oluberera. Abazadde ababa bagyidwako obuvunanyizibwa, n’obuyinza baba tebakyabuyina ku mwana oyo ng’amateeka bwegakirambika.
Ebirubirirwa ebirungi ku mwana biyina kuba bya kumuzaala buggya oluberera.

Okulabirira omwana nga kya kaseera oba okumuzaala obuggya oluberera waliwo njawulo ki?

Okulabirirwa omwana nga kyakaseera aba abudabudibwa okumala ekiseera ekitaliko bukakafu nabuyinza buggyuvu mu maka agaba gayina obusobozi. Obuvunanyizibwa ku mwana bugabanyizibwamu amaka n’abakulembeze b’okukyalo okumala akaseero akaba kasoboddwa.

OKulabirira omwana okumala akaseera kyekisokerwako nalyoka azalibwa obuggya oluberera. Abakulembeeze b’okukyalo n’abakozi b’ebyobulamu baggya kubeera kumpi nnyo mukufaayo n’okunonyereza ku waka omwana waba atekeddwa. Omwana ayina okulabirirwa okumala emyaka 3 {ng’esatu} ng’okukirizibwa okumuzaala obuggya tekunabaawo.

Baana ki abetaaga okuzalibwa obuggya oluberera?

Abazadde abatayina ssuubi abawulira nga tebayina kyakoola kirara okuggyako okusuula abaana, basuula abaana abassukka mu kikumi mu zikabuyonjo, ebifo awakunganira emmotoka z’olukale oba mu malwaliro g’e Kampala. Ekibiina kya “Malaika Babies Home” kizze kimanyibwa bulungi mu Kampala olw’obuyambi obumpimpi obuli kumutindo bwekizze kiwa abaana abasuliddwa. Abaana abembeera ez’enjawula bangi bajja gyetuli. Abamu bayina endya embi ate nga basuliddwa olw’obwavu, abalala balabwa nga kikolima olw’endwadde z’olukonvuba, ate abalala baba n’obulemu ku mibiri ne ku bwongo. Tugezaako kyetusobola okunonya abazadde b’abaana bonna abommussaayi naye oluusi ebifa ku bazadde tebirabika.

Ng’oggyeko okumanya ensibuko abaana bonna tubawa okwagala kwekumu nga mu bujanjabi n’okubafaako mu kibiina kya “Malaika Babies Home” ate bonna basaanidde akakisa k’okwagalwa.

Buyambi bwa kikaaki bwenaafuna?

Obuyambi webuli ku buli ddala ely’okuzaala omwana obuggya ly’oba otuseeko.
Omu ku b’akabinja akanonyeza omwana aw’okubeera nga avudde mu kitongole kya “Child’s i Foundation” Aggya kubeera ng’asinkana naawe ebiseera ebisinga mungeri y’okuzaala omwana obuggya ne ng’omwana omwana amaze okutekebwa mu mikono ggyo.

Tusobola n’okukuyambako mu kuggyuza empapula ezzimu ebenyigidde mu ngeri y’okuzaala abaana Obuggya.

Ndi muzadde omu, nsobola okuzaala omwana obuggya?

Yye, twaniriza okusaba kwa bonna, kinoomu n’abasukamu okwenyigira mu kuzaala abaana obuggya.

Abaana bayina okubulirwa nti bazaaliddwa buggya?

Omwana kasita abeera mu buyinza bwo n’abaako emyaka gyatukako obeera oyina okumubulira nti yazalibwa buggya mu makaago, oyinza n’okweyambisa n’ebbimu ku nsibuko ye ng’omunyonyola bwekiba kyetagisizza

Okwataganya ensonga zino kiyinza okulabika ng’ekizibu naye ekitongole kya “Child’s i” kisobola okuyamaba mu kukuwa engeri zoyinza okukozesa okwogera n’omwana wo ng’omubulira obuvo bwe n’okumumanyisa okuzaalibwa obuggya kyekitegeeza..

Kiba kirungi okkubiriza abaana okuwuliziganya ne bazadde babwe abommussaayi?

Buli ngeri y’okuzaalamu omwana obuggya ya njawulo. Tekyewunyisa omwana azaliddwa obuggya okwagala okumanya obuvo bwe. Bwkiba kyetagisa osobola okutegekawo ensisinkano n’abazadde bw’omwana abommusaayi ssinga baba bamanyiddwa oba okuwuliziganya nabo ebiseera ebimu .

Bwoba mubwetaavu bw’okuwuliziganya n’abazadde b’omwana oba aba muzalira ddala oyina kusoka kumanya byetaago oba endowooza y’omwana ku nsonga eyo.

Lwaki netaaga okuzaala omwana obuggya mungeri ennongoseemu?

Okuzaala omwana obuggya mu ngeri ekirizibwa kiyina emigaso egyitagwayo:

  • Omwana wo abeera n’eddembe mu buggyuvu erikirizibwa mu mateeka.
  • Omwana tatusibwako buzibu ng’ali mu mikono gyo.
  • Obulamu bw’omwana wo bubeera n’obukuumi olubeerera
  • Bwoba wetaaga okuzaala omwana obuggya oyinza okwagala okumaliriza ekiraga obwetaavu {WEYUNGE ku kulaga obwetaavu} ku lupapula.
  • Nyinza okwelondera omwana kyeyagalire?

    Oggya kukirizibwa ssinga oba n’ekigero ky’omwana mu myaka gw’oyagala nga yasaanira mu makaago.
    Omwana yenna ow’okuteeka mu makaago kimala kusalibwawo abassengezzi mu kuzaala omwana obuggya wamu n’akabinja akanonyeza abaana amaka g’okuberaamu.

    Leave a Reply