Osobola okulabilira omwana eyetaaga amaka okumala akabanga katono?
Tukiriza nti buli mwana asaanidde okukulira mu makka nga ayagalibwa. Omwana bwaba nga asuuliddwa, kitwalira abakozi baffe ebanga eliwerako okunonyereza kubazadde n’abenganda bomwana ono, oba okumufunila abazadde abapya abasobola okumukuza. Mukaseera kano, twetaaga abantu abayinza okulabilira omwana ono ewaka ewuwe nga bwetukola okunoonyereza, okumala emyeezi 3-6.
Okunoonyereza kulaze nti buli myeezi 3 omwana gyamala mukitongole ekikuuma abaana, afiirwa omwezi gumu ogw’okukula obulungi. N’olwekyo, tutandiisewo enkola eyokukuliza abaana bano mumaka mukaseera akokunoonyereza tusobole okukendeeza ku bulabe buno.
Oluvanyuma lwokumufunira amaka amapya, abo ababadde bamukuuma bamwanjula mpola mpola eri abazadde be abapya, nayiga okubaagala n’okubesiga, nga abakuzi baffe ababaana babayambako.
[youtube NJRVjqbgyJE]
Ebiseera ebimu, omwana asangibwa okuba n’abazadde oba ab’enganda abamanyirwako, naye nga olwenzonga ezikwatagana nobukumi bw’omwana ono tetusobola kumubalekera. Awo, twetaaga abazirakisa abayinza okulabilira omwana ono okutuusa nga awezezza emyaka 18 egy’obukulu.
[youtube ul2tHlzCdP8]
Wegatta otya ku nkola eno?
Bwoba owulira nga wandisobodde okutuyambako okulabilira abaana okumala akabanga akatono, tuweeleze obubaka ku email [email protected] oba kuba essimu 0776110304 okumanya ebisingawo. Bwewewandiisa, omukozi waffe ajakujja akukyalire ewakka, akole okunoonyereza okusobola okukutegeera obulungi oluvanyuma alipoota eweebwe akakiiko akasalawo. Akakiiko bwekakukiriza okusiinziira ku alipoota eyo, nga tukuwa omwana.
Okulabilira omwana kunti kilungi nnyo. Kiwa omwana eyali yalekebwawo omukisa okumanya okwagala n’obukuumi bw’amaka. Nga ali mumakka gano, omwana ayiga okwesiga n’okwagala abantu banne, asobole okukula obulungi nga yetegekera obulamu obw’omumaaso.